Mbikooye – Cindy

Verse 1

Mbulira ssebo mwami wange ekikukoza bino

Mazima ngezeeza ko okukola ebilungi nebiiva bussa

Wandibadde mu ak’obuntu nontogalabajja

Kubanga tuyise mu bingyi mwami nawe obyelabidde

Nfubye nyo okugumikirizza nange nentuka wenkoma

Nayye nze ontamizza obufumbo, mpulira honey mbikooye

Yeah Ooh… nkooye okuyomba

Chorus

Zino love ez’embirigo zantama, nkooye okuyomba

Nsazewo mwami kanobe ate oba gyoli sikyagasa, nkoye okuyomba

X3

Verse 2

Nnakukola ntya mwami ekitandabye bubi

Nnakugamba ki ssebo ekinakukyusa endowozza

Nkwagala naye ejoogo lyolina lisukiridde

Nebwenkubulira ebintu ebinuma tewefilayo

Bwenkunenya ko oyomba buyombi olusi nokuba

Bufumbo ndaba ki omutali kuteesa mwami wange

Nfubye nyo okugumikirizza nange netunka wenkomma

Naye gw’ontamizza obufumbo honey, nange mpulira mbikooye

(Chorus)

Bridge

Bwenkusekerako, ompita Nalweyiso

Lwe nekyanze, nompita Nabweteme

Bwe nekolako, nompita Namyekozo

Nenkusirikirira, ela nonzoyasoya

Ehh… Nkooye okuyomba!

(Chorus)

Outro

Nkooye okulwana, nkooye okuyomba

Uh huh, ngenda ohh…

Ewa maama tebangoba kanzireyo nze…

Taata wange akyanjagala kanzireyo nze…

Nkooye… nkooye…

Nedda, ngenda ohh…

Zino love ez’embirigo zanyiwa

Zino love ez’embirigo zantama

Nkooye…

Nkooye okuyomba

Nkooye okulwana

Nkooye okuyomba

LIKE THESE LYRICS?

THEN PLAY THE SONG!

Advertisements

About Mister L256

Ambitious. Passionate. 256 Born&Raised.

Posted on June 22, 2012, in RnB and tagged , , , , , , , , , . Bookmark the permalink. 3 Comments.

  1. Hey, is it possible to get a translation? Simanyi much Luganda but I loooooove UG music

%d bloggers like this: