Bilowoozo – Iryn Namubiru

Verse 1

Mwami, mwami mwami… mwami…

Mbadde ndi awo nelarikirira, nga manyi ebyange biselengerera

Nendowooza nti oba ndina, okukyusa kubyokulya

Nendya buli kimu nga wa, ko nze bino no byagala ddagala

Omubiri gwange gwona, nga kukoze gunzigwako

Nenumb’e Mulago mu b’omusaayi bwoba gw’olowooza kyi

Omusawo nangamba ndin’ekiwundu

Ekiwundu ekitetagisa okutunga, nangamba kili ku mutima

Ate nga kiva ku bwongo, ko ye bambi oyinza nokufa

Kukyendabye naye no…

Chorus

Ebyo bilowoozo, bilowoozo eby’oyo ayagenda natadda

Bilowoozo, bindi bubi ela simanyi ob’alidda

Bilowoozo, bilowoozo by’ono eyagenda natadda

Bilowoozo, bindi bubi ela simanyi oba alidda

Verse 2

Omutima gunduma nentuula nendowooza nti oba gwe mulwadde

Bwempita mu kubo abamu basembelayo anti ndi ng’omuzoole

Naye wagenda wa, oba wagenda wa mwami wange… mwami wange

Okukomba kungulu, silikiddamu, kyenakola

Kubanga binuma binuma binuma, bindi bubi…

Chorus

Bino bilowoozo, bilowoozo eby’oyo ayagenda natadda

Bilowoozo, bindi bubi ela simanyi ob’alidda

Bilowoozo, bilowoozo by’ono eyagenda natadda

Bilowoozo, bindi bubi ela simanyi oba alidda

Verse 3

Mwami, mwami mwami… mwami mwami tonumy’obwongo

Mwami wange tonumy’obwongo…

Mwami, mwami mwami… mwami, mwami mwami…

Kati sagala munyiize, sagala mukabye, sagala muswaze

Sagala munyiize, bwoba ng’omusanze, mugambe nagonze

Kubanga gunuma… omutima gunuma…

Omutwe gunuma… n’egyendya tewooma…

Mugambe mulinze, ewange mulinze…

Chorus

Bino bilowoozo, bilowoozo eby’oyo ayagenda natadda

Bilowoozo, bindi bubi ela simanyi ob’alidda

Bilowoozo, bilowoozo by’ono eyagenda natadda

Bilowoozo, bindi bubi ela simanyi oba alidda

LIKE THESE LYRICS?

THEN PLAY THE SONG!

Advertisements

About Mister L256

Ambitious. Passionate. 256 Born&Raised.

Posted on July 19, 2012, in RnB and tagged , , , , , , , . Bookmark the permalink. Leave a comment.

Comments are closed.

%d bloggers like this: