Oli Mbuzi – Don MC ft Otrix

Intro

Nesiimu oli bikyi? Don MC, Otrix, Buddies Music

Too Bad Entertainment mu kizimbe!

Verse 1 (Don MC)

Boss atayagala kusasula bakozi be omwezi negugwako n’obabikira, mbuzi

Ko ba dame abatulimba emyaka mbu balina abiri kumbe bakade, mbuzi

Government official bakuwa sente ezokukola enguudo nozilya buli, mbuzi

Bakebede ng’olina silimu gwe n’osalawo omuwe ku balala, oli mbuzi

K’abasajja ba kagwansonyi abakwata obwana obutto, muli mbuzi

Nkawereza bano abasadaaka banabwe mbu bagala bugaga wabula, muli mbuzi

Chorus

Kano bwekaba tekakukute, oli mbuzi. Toyagaliza bano, oli mbuzi

Kyusamu baaba sikuvumye nkugambyeko bugambi, nti oli mbuzi

Tokafeelinze? Oli mbuzi. Toyagaliza bano? Oli mbuzi

Kyusamu baaba sikuvumye nkugambyeko bugambi, nti oli mbuzi

Verse 2 (Don MC)

Abafumbo bangi eyo abanoonya abaana, bakoze buli kimu abaana bababuze

Kyoka gwe omuzadde omusudde mutoyi, wabula kawala gwe, oli mbuzi

Abasumba ababuzabuza endiga, nawe Hajji ng’ovumaganya ediini yo

Nina ekigambo kimu eky’okukugamba, kimu kyoka bwekiti, oli mbuzi

Bano bakola gwo’lera ngalo (mbuzi), kyoka byebakoze n’obibanyagako (mbuzi)

Otigomya abantu ku kyalo oleega buleezi… oli mbuzi

(Chorus)

Verse 3 (Otrix)

Kati gw’olaba nti okwenda ku muno mbu kyekisinga, oli mbuzi

Gw’omusawo abba edagala lya abalwadde tolaba ntino, oli mbuzi

Weyita boss boss kyoka sebbo nga tovaayo na gyoli, mbuzi

Gwe campuser nga togwaako retake my friend nze nkukakasa, oli mbuzi

Okola mu katale bwekituuka okusasula empoza wepena, mbuzi

Okwanye ka baby kakugambye I’m booked obitademu obusungu

Wabula oli mbuzi… oli mbuzi…

(Don MC)

Toyagaliza bano? Oli mbuzi

Kyusamu baaba sikuvumye nkugambyeko bugambi, nti oli mbuzi

Tokafeelinze? Oli mbuzi. Toyagaliza bano? Oli mbuzi

Kyusamu baaba sikuvumye nkugambyeko bugambi, nti oli mbuzi

(Chorus)

Outro

Oli mbuzi… oli mbuzi… nti oli mbuzi

Oli mbuzi… oli mbuzi… nti oli mbuzi

LIKE THESE LYRICS?

THEN PLAY THE SONG!

Advertisements

About Mister L256

Ambitious. Passionate. 256 Born&Raised.

Posted on January 18, 2014, in Hip Hop and tagged , , , , , , , , , . Bookmark the permalink. Leave a comment.

Comments are closed.

%d bloggers like this: