Kiluma Nyo – Leila Kayondo

Intro

Heh… kiluma nyo, hmmm…

Verse 1

Ndi mukazi mutto nsiiba njiiya, nze byenkuwa gwe, bingi sibala nze (oh…)

Yadde ng’ebikemo bingi, bijja sibifako, muli njagala gwe (oh no no…)

Eyo mu kiro obeera safari, mbeera ntyamu, nga ndi nzeka (oh no no no…)

Singa okiriza buli kyensaba, nze nandisabye nga, onjagale nga (heh…)

Chorus

Mazima kiluma nyo okulaba oyo gwoyagala, nga takuliiko, takufako

Naye ate kyewunyisa okulaba naye gwayagala, nga tamuliiko, tamufako

X2

Verse 2

Omuntu yesanyuse nga, negwayagala, muli gwabiita (oh…)

Kiruma nyo dear gwe bwonsiraanya bwotyo, kyensabye tonfaako (oh no no…)

Eyo mu kiro nsiiba ndoota, nti tonjagala, kyuusa empisa yii mukwano

Singa omulamuzi yali wano, nze nandikuloopye, nobaako kyokola

(Chorus)

Verse 3

Mu butuufu nkoze ntya okufuna omubeezi ananjagala? Atanjuze…

Oh mama nkoze ntya okufuna omutuufu? Anamatira, atambuuke…

Kubanga mbonyebonye nyo, eby’omukwano bintamye

Omuntu nomweewa, ate ye nakulumya

Omutima gumenyese nyo, ebiwuundu binuma

Nze noonya anabiwoonya, amundabira amugambe

(Chorus)

Yeah… kiluma nyo… takuliiko… heh…

LIKE THESE LYRICS?

THEN PLAY THE SONG!

Advertisements

About Mister L256

Ambitious. Passionate. 256 Born&Raised.

Posted on February 4, 2014, in AfroPop and tagged , , , , , , , . Bookmark the permalink. Leave a comment.

Comments are closed.

%d bloggers like this: